Exodus 40:36-38

36 aMu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 bEkire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.

Copyright information for LugEEEE